Ebola: Abadduse e Bundibugyo balojja bw?azikirizza ebyalo
Ebola: Abadduse e Bundibugyo balojja bw?azikirizza ebyalo
http://www.bukeddekussande.co.ug/detail.php?mainNewsCategoryId=3&newsCategoryId=281&newsId=601003
Omusawo Juma Kadiri yazze n?abaana be bonna mu Kampala lwa Ebola.
Bya Robert Mutebi
OBUDDE bukya bakuba biwoobe na miranga era ne buziba nga bakaaba. Enkola ey?okuziikirako abantu ewereddwa era abafa kati bazingibwa mu nveera ne baziikibwa abakugu abatendekeddwa okukola omulimu guno ng?abatuuze beesudde akabanga babatunuulira.
Omwagalwa wo ng?alumbiddwa Ebola, ggwe wandibadde omujjanjaba naye tokkirizibwa kumusemberera wadde okumukwatako. Abakazi beesambye abaami baabwe ate n?abaana badduse awaka olwa Ebola.
Ebitundu ebimu e Bundibugyo abantu bakeera kulinda bbaasi badduke ekibabu.
Mu ppaaka ya bbaasi, mmotoka za Kalita ezikola e Bundibugyo abadda ewaabwe tebakyabalaba, ezimu kati zigenda nkalu okunona abadduka Ebola babayiwe mu Kampala.
Henry Mutebi maneja wa bbaasi za Kalita agamba nti, ?Abantu abava mu byalo be basinga obungi. Tetusobola kubakebera kusunsulamu balamu na balwadde. Kyokka abakozi baffe tubawadde enkampa beesabike ne Jik ow?okunaaba nga balina kye bakutteko.?
Ku ssaawa 9:00 ez?olweggulo ku bbaasi eva e Bundibugyo yatuuse mu ppaaka naye ab?ebigaali baagyesambye ate abasaabaze olwatandise okuvaamu abalala ne bagyesega. Abamu ku bajjidde mu bbaasi eno baagambye bwe bati:
Scovia Tunga: ?Bannange mukaaga bwe tubadde mu ddwaaliro baafudde nange kwe kuddukayo. Sirina Ebola kyokka akalwaliro k?e Virika gye mbadde katono natidde nti nze alwadde omusujja n?owa Ebola kyangu okutugatta awamu ate abasawo tebakyayagala kukwata ku bantu.?
Anita Mbabazi: ?Maama, taata ne bato bange babiri baafudde oluvannyuma lw?okulwala. Awaka mbadde nsigaddewo bw?omu ate nga sirina annyamba ne nziruka. Sikyalina andabirira kwe kusalawo okujja mu Kampala ewa kojja wange e Bwaise.?
Masuudi Kanuba: ?Ensi yakalubye dda mu kyalo buli omu atya munne. Oba oli awo ng?owulira nti ono afudde ate mukazi we bamututte mu ddwaaliro ng?ali bubi.?
Peter Baruk yagambye nti: mukyala wange n?omwana bonna baafudde ate bang?aana okubaziikako. ?Mukazi wange ne muwala wange baakasukiddwa mu kinnya nti emirambo gyabwe gya bulabe era bw?ogikwatako nga teweesabise bulungi obulwadde bukukwata. Nze sirina nkampa zeesabikibwa okuggyako abo abakola ku kuziika.?
Abayizi Junior Muhumuza ne Byenkya aba Semiliki High School bakyalojja lwe baalaba bannaabwe abasoba mu kkumi nga lubatwala.
?Tetwamanya mu kusooka nti yali Ebola okutuuka lwe twalaba ng?essomero liggalwa. Abaana bangi baafa naye bwe twazzeeyo awaka twasanze taata ali mu ddwaaliro ne tutunda embuzi zaffe ne tujja mu Kampala?.
Ddereeva wa bbaasi ya Kalita ekola e Bundibugyo Badru Lubwama agamba nti, ?Tetukyalya mmere mu wooteeri ate tutambula n?amazzi gaffe. Abantu bangi baagala okuddukayo kyokka tebalina ssente zibatuusa mu Kampala.?
Omusomesa Elizabeth Sigarenge nga ye yakulembedde banne nga badduka ku kyalo, agamba nti amasomero mangi gaggalwawo mu October Ebola bwe yatandika okutta abantu. Ffe eby?okusomesa twabimala dda ng?abaana baggwaawo simanyi lwaki kati lwe mulabye okubiwandiikako.?
Juma Kidiri omusawo mu ddwaaliro ly?e Virika yavuddeyo n?abaana be bonna. ?Embeera mbi akwatibwa tawona era bw?olaba owuwo nga lumukutte ng?omusiibula. Mbadde nzigya ne bambikira abasawo mikwano gyange. Abo abataddukidde Kampala, bagenze mu bitundu birala olwa Ebola.?
Published on: Saturday, 8th December, 2007