Announcement

Collapse
No announcement yet.

Uganda - Ebola - Local language news articles

Collapse
X
 
  • Filter
  • Time
  • Show
Clear All
new posts

  • Uganda - Ebola - Local language news articles

    Please post to this thread news articles in Uganda language concerning the 2007 Ebola epidemic

  • #2
    Abantu 15 abateeberezebwa okuba ne Ebola bayingidde Kampala

    http://www.bukeddekussande.co.ug/det...&newsId=601018



    Abamu ku bajjanjabi abali mu nkambi y?aba Ebola e Bundibugyo. Abalala be bateeberezebwa okuba ne Ebola abassiddwa mu nkambi.

    Bya Richard Kayiira

    MINISITULE y?ebyobulamu etegeezezza nti 15 b?eteebereza okuba n?obulwadde bwa Ebola olw?enkolagana gye babadde nayo n?abafudde obulwadde obwo, omuli okubajjanjaba n?okuziika, baddukidde mu Kampala.

    Omuwendo gw?abantu abafudde Ebola nagwo gweyongedde ne guva ku bantu 22 ne gutuuka ku 24 oluvannyuma lw?abantu abalala babiri okufiira mu ddwaaliro ly?e Bundibugyo ku Lwokutaano.

    Disitulikiti endala okuli Mubende, Masaka, Kanungu, Adjumani, Kasese ne Mbale zirimu abantu abalaze obubonero obwefaanaanyiriza ku bwa Ebola.

    Abantu 338 be bakakasiddwa nti bakolaganyeeko n?abalwadde ba Ebola omuli okubajjanjaba, okunaaza emirambo n?okuziika abafudde Ebola era nga kiteeberezebwa nti akawuka akaleeta obulwadde obwo kaabakutte.

    Omukungu mu Minisitule y?ebyobulamu Dr. Monicah Musenero agambye nti bazudde abantu 15 mu Divizoni za Kampala ez?enjawulo abaakolaganye n?abalwadde ba Ebola nga kati babalondoola okukakasa nti bwe baba baafunye obulwadde obwo, ate tebabusiiga balala.

    Musenero yagambye nti bagenda kusigala nga beekenneenya abantu abo okumala ennaku 21 okukakasiza ddala nti tebalina Ebola.

    Mu kiseera ky?ekimu, Ssentebe wa disitulikiti y?e Bundibugyo Jackson Bambalira agambye nti abantu abalala 2 bafiiridde mu ddwaaliro ly?e Bundibugyo ne kituusa omuwendo gw?abafudde Ebola ku 24.

    Akulira ebyobulamu e Kasese Dr. Peter Mukobi yategeezezza nti abantu 20 abateeberezebwa okuba ne Ebola mu kitundu ekyo bakuumirwa mu maka gaabwe okuziyiza obulwadde okukwata abantu abalala.

    Embaga 42 ezibadde zitegekebwa e Kasese zoolekedde okusazibwamu olw?obukwakkulizo obwateereddwaawo.

    Omusumba w?essaza ly?e Kasese Rev. Egidio Nkaijanabwo yagambye nti olw?okwewala Ebola abanaagattibwa balina okujja n?abantu batono ddala.

    Published on: Saturday, 8th December, 2007

    Comment


    • #3
      Dr. Sessanga eyaakamala ne Ebola ennaku 14 amutenda

      http://www.bukeddekussande.co.ug/det...&newsId=601019


      Bya Richard Kayiira

      DOKITA amaze ennaku 14 n?obulwadde bwa Ebola akubye ku matu wabula ebyamutuuseeko abinyumya nga lutabaalo.

      Dr. Steven Sessanga Kaddu nga y?akulira eddwaaliro ly?e Bundibugyo ye Dokita yekka asigadde e Bundibugyo oluvannyuma lwa munne Dr. Jonah Kule okufiira e Mulago ku Lwokubiri.

      Obulwadde bwa Ebola bumulumidde ennaku 14, wabula y?omu ku bannamukisa abakyali abalamu.

      Yategeezezza Bukedde ku ssimu nti; ?Obulwadde bunkomezzaayo. We njogerera bino, omutwe tegunnatereera bulungi era sisobola kumala ddakiika nnyingi nga njogera.?

      Yayongedde n?annyonnyola nti, obulwadde bwamukwatira ku ddwaaliro ly?e Bundibugyo kubanga ye dokita yekka ali ku ddwaaliro eryo era baaleetanga abalwadde okuva e Kikyo ne bitundu ebirala abakwatiddwa Ebola y?alina okubakolako.

      Baamusiibudde oluvannyuma lw?oku- mala ennaku 12 ku kitanda mu ddwaaliro Bundibugyo era agamba obuyambi obwamuweereddwa basawo bwakoze kinene okutaasa obulamu bwe.

      Bwe yabuuziddwa ekyamuyambye oku- wona, yazzeemu nti; ?Katonda?. Wabula yayongeddeko nti ebbanga lyonna yafubanga okweteekamu endowooza tanga okwegayirira Katonda mu bwe.

      Mu kiseera kino ali Bundibugyo era abasawo lira okutuusa ennaku ne bakakasiza ddala Yagambye nti amawulire mukwano gwe Dr. Jonah Mulago ku Lwokubiri wabula yeewalirizza n? ika.

      Abasawo n?abajjanjabi watibwa obulwadde bwa bo bana bafudde.

      Published on: Saturday, 8th December, 2007

      Comment


      • #4
        Abateeberezebwa okuba ne Ebola e Kyambogo babaawudde ku bannaabwe

        http://www.bukeddekussande.co.ug/det...&newsId=601006

        Abateeberezebwa okuba ne Ebola e Kyambogo babaawudde ku bannaabwe

        Bya Herbert Musoke ne
        Luke Kagiri

        ABAYIZI mu yunivasite e Kyambogo abaagenda okuziika omusawo eyafa obulwadde bwa Ebola e Bundibugyo bazuuliddwa ne bakeberebwa era basangibwa nga tebannafuna bulwadde buno.

        Kino kiddiridde akasattiro akabadde mu ttendekero lino nga kiteeberezebwa nti abayizi bano bandiba nga baakomawo n?obulwadde buno.

        Akulira eby?obujjanjabi n?obulamu mu ttendekero lino Dr. Rosemary Nabadda yagambye nti, ?Abayizi bonna abaagenda e Bundibugyo okuziika twabafunye era ne tubakebera nga tebalina kabonero konna kalaga nti balina obulwadde buno.

        Wabula abayizi bano tubataddeko eriiso ejjogi era nga buli lunaku balina okukeberebwa okukakasa nti bali mu mbeera nnungi? .

        Ye akola ng?omumyuka w?akulira ettendekero lino D. Basiima yakubirizza abayizi okubeera abakkakkamu bakole ebigezo byabwe byonna nga tebalina kutya kwa Ebola kubanga tannaba kutuuka mu Kyambogo.

        Mu kiseera ky?ekimu abatuuze mu disitulikiti y?e Mityana batandise okusattira olw?abantu abateeberezebwa okubeera ne Ebola abaaweereddwa ebitanda mu ddwaaliro lya gavumenti e Mubende nga bali mu mbeera mbi.

        Waliwo ebigambibwa nti abantu bana baatwaliddwa mu ddwaaliro lino ku Lwokutaano nga biwalattaka era nga kiteeberezebwa okuba nga balina Ebola.

        Akulira aby?okunoonyereza ku ndwadde ezigwaawo mu disitulikiti y?e Mubende Mw. Francis Maseruka yagambye nti babadde bakyanoonyereza bakakase oba ddala Ebola oba bulwadde bulala.


        Published on: Saturday, 8th December, 2007

        Comment


        • #5
          Ebola: Abadduse e Bundibugyo balojja bw?azikirizza ebyalo

          http://www.bukeddekussande.co.ug/det...&newsId=601003


          Omusawo Juma Kadiri yazze n?abaana be bonna mu Kampala lwa Ebola.

          Bya Robert Mutebi

          OBUDDE bukya bakuba biwoobe na miranga era ne buziba nga bakaaba. Enkola ey?okuziikirako abantu ewereddwa era abafa kati bazingibwa mu nveera ne baziikibwa abakugu abatendekeddwa okukola omulimu guno ng?abatuuze beesudde akabanga babatunuulira.

          Omwagalwa wo ng?alumbiddwa Ebola, ggwe wandibadde omujjanjaba naye tokkirizibwa kumusemberera wadde okumukwatako. Abakazi beesambye abaami baabwe ate n?abaana badduse awaka olwa Ebola.

          Ebitundu ebimu e Bundibugyo abantu bakeera kulinda bbaasi badduke ekibabu.

          Mu ppaaka ya bbaasi, mmotoka za Kalita ezikola e Bundibugyo abadda ewaabwe tebakyabalaba, ezimu kati zigenda nkalu okunona abadduka Ebola babayiwe mu Kampala.

          Henry Mutebi maneja wa bbaasi za Kalita agamba nti, ?Abantu abava mu byalo be basinga obungi. Tetusobola kubakebera kusunsulamu balamu na balwadde. Kyokka abakozi baffe tubawadde enkampa beesabike ne Jik ow?okunaaba nga balina kye bakutteko.?

          Ku ssaawa 9:00 ez?olweggulo ku bbaasi eva e Bundibugyo yatuuse mu ppaaka naye ab?ebigaali baagyesambye ate abasaabaze olwatandise okuvaamu abalala ne bagyesega. Abamu ku bajjidde mu bbaasi eno baagambye bwe bati:

          Scovia Tunga: ?Bannange mukaaga bwe tubadde mu ddwaaliro baafudde nange kwe kuddukayo. Sirina Ebola kyokka akalwaliro k?e Virika gye mbadde katono natidde nti nze alwadde omusujja n?owa Ebola kyangu okutugatta awamu ate abasawo tebakyayagala kukwata ku bantu.?

          Anita Mbabazi: ?Maama, taata ne bato bange babiri baafudde oluvannyuma lw?okulwala. Awaka mbadde nsigaddewo bw?omu ate nga sirina annyamba ne nziruka. Sikyalina andabirira kwe kusalawo okujja mu Kampala ewa kojja wange e Bwaise.?

          Masuudi Kanuba: ?Ensi yakalubye dda mu kyalo buli omu atya munne. Oba oli awo ng?owulira nti ono afudde ate mukazi we bamututte mu ddwaaliro ng?ali bubi.?

          Peter Baruk yagambye nti: mukyala wange n?omwana bonna baafudde ate bang?aana okubaziikako. ?Mukazi wange ne muwala wange baakasukiddwa mu kinnya nti emirambo gyabwe gya bulabe era bw?ogikwatako nga teweesabise bulungi obulwadde bukukwata. Nze sirina nkampa zeesabikibwa okuggyako abo abakola ku kuziika.?

          Abayizi Junior Muhumuza ne Byenkya aba Semiliki High School bakyalojja lwe baalaba bannaabwe abasoba mu kkumi nga lubatwala.

          ?Tetwamanya mu kusooka nti yali Ebola okutuuka lwe twalaba ng?essomero liggalwa. Abaana bangi baafa naye bwe twazzeeyo awaka twasanze taata ali mu ddwaaliro ne tutunda embuzi zaffe ne tujja mu Kampala?.

          Ddereeva wa bbaasi ya Kalita ekola e Bundibugyo Badru Lubwama agamba nti, ?Tetukyalya mmere mu wooteeri ate tutambula n?amazzi gaffe. Abantu bangi baagala okuddukayo kyokka tebalina ssente zibatuusa mu Kampala.?

          Omusomesa Elizabeth Sigarenge nga ye yakulembedde banne nga badduka ku kyalo, agamba nti amasomero mangi gaggalwawo mu October Ebola bwe yatandika okutta abantu. Ffe eby?okusomesa twabimala dda ng?abaana baggwaawo simanyi lwaki kati lwe mulabye okubiwandiikako.?

          Juma Kidiri omusawo mu ddwaaliro ly?e Virika yavuddeyo n?abaana be bonna. ?Embeera mbi akwatibwa tawona era bw?olaba owuwo nga lumukutte ng?omusiibula. Mbadde nzigya ne bambikira abasawo mikwano gyange. Abo abataddukidde Kampala, bagenze mu bitundu birala olwa Ebola.?


          Published on: Saturday, 8th December, 2007

          Comment


          • #6
            Kenya yachukua hatua za kuzuia Ebola isipenye nchini humo

            http://www.ippmedia.com/cgi-bin/ipp/....pl?key=104148

            Kenya yachukua hatua za kuzuia Ebola isipenye nchini humo

            2007-12-12 16:08:06
            Na EAR Habari


            Mkurugenzi wa Huduma za Afya nchini Kenya, Dk James Nyikal amesema serikali imechukua hatua za kuzuia ugonjwa wa Ebola usipenye nchini Kenya.

            Dk. Nyikal amesema kwamba wizara ya afya ya Kenya itaanza kuwapima wasafiri ambao wanaingia nchini humo kutoka Uganda, ambako imereportiwa watu 29 wamekufa kutokana na ugonjwa huo.

            Amesema tayari wataalamu wa kufanya vipimo wameshawekwa katika maeneo ya mpakani mwa Busia, na Malaba na pia katika viwanja vya ndege.

            ---------------

            Comment: From the few words I can read, this article seems about Kenyan air transport/airport/borders, and 29 dead from Ebola in Uganda.

            Comment

            Working...
            X